Exodus 35:25-35

25 aAbakazi bonna abaali bamanyi ennyo okulanga ewuzi, ne balanga n’engalo zaabwe ewuzi eza bbululu, n’eza kakobe, n’emyufu n’eza linena omuyonde obulungi, ne bazireeta ne baziwaayo. 26Era n’abakazi bonna abaali abakugu era nga beeyagalidde, ne balanga ewuzi mu bwoya bw’embuzi. 27 bAwo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, n’amayinja amalala ag’omuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne ku ky’omu kifuba. 28 cEra ne baleeta n’ebyakaloosa, n’amafuta g’ettaala, n’amafuta ag’okwawula n’okukozesa ku bubaane. 29 dAbaana ba Isirayiri bonna, abasajja n’abakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olw’omulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ng’ekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.

Bezaaleeri ne Okoliyaabu n’abakozi

30Awo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. Mukama alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda. 31 eMukama amujjuzza Omwoyo we, n’obusobozi, n’amagezi, n’okuteteenkanya, n’okutegeera, awamu n’obukozi obwa buli ngeri; 32ayiiye amajjolobera ag’okukolebwa mu zaabu ne ffeeza ne mu kikomo; 33era n’ag’okusalwa mu mayinja ag’okutona, era n’ag’okwolebwa mu miti, n’okukola buli ngeri yonna ey’amagezi. 34 fEra ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala. 35 gAbajjuzza amagezi ag’obukugu mu mitima gyabwe okukola eby’emikono ebya buli ngeri ng’ebikolebwa abayiiya amajjolobera, oba abasala amayinja, oba abatunzi b’emidalizo n’ebimuli mu wuzi eza bbululu, n’eza kakobe n’emyufu mu bitambaala ebya linena omulungi, oba abalusi, oba abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri n’abatetenkanya amajjolobera.”

Exodus 36:1-5

1 h“Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, Mukama gw’awadde obusobozi n’amagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya Mukama, bajja kukola nga Mukama bw’alagidde.”

2 iAwo Musa n’ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna Mukama gwe yali awadde amagezi n’obusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola. 3 jMusa n’abakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde Mukama nga bwe baali beeyagalidde eby’okukozesa eweema ya Mukama. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya. 4Awo abakozi bali abakugu abaali bakola eweema ya Mukama ne bava ku mirimu gyabwe, 5 kne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu Mukama gwe yalagira okukolebwa.”

Copyright information for LugEEEE